Ebyobulamu
Okunyw amazzi kugogola omubiri
Amazzi ga mugaso nnyo eri obulamu kyokka nga bangi bagagayaalirira
Obadde okimanyi nti amazzi gakuuma omubiri nga mulamu nga gakola ebitundu 60 ku buli kikumi ez’obuzito bw’omubiri gwonna
Amazzi gano nno gayamba okugogola ebikyaamu ebibeera mu mubiri kko n’okukola ku Matu , enyindo n’emimiro.
Omuntu atanywa mazzi era abeera akoowa koowa olw’omubiri okubeera omunafu nga gukaze.
Omuntu yenna okubeera n’amazzi agamala mu mubiri aba alina okunywa liita ssatu eri abasajja ate abakyala liita 2.