Ebyobulamu
Okunywa sigala eri abali embuto butwa
Abakyala bangi b’oyitako nga bafuuwa sigala kyokka nga bali mbuto
Naye okimanyi nti sigala ono akosa okussa kw’omwana
Kino kiva ku mukka guno okuzikira amawuggwe ge omukka ogussibwa neguba nga tegutambula bulungi
Dr Daniel Kadomero okuva mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti sigala ono alimu taaba ng’ono atuukira ku mwana era n’akosebwa
Dr.kadomero era agamba nti abafuuwa taaba batera okuzaala abaana abatannaba kutuuka