Ebyobulamu
Okusala amasavu kitangira sukaali
Okusala amasavu kuyamba okukendeeza obulwadde bwa sukaali
Abanonyereza balondodde abantu abasoba mu 5000 okukakasa oba ddala kino kituufu
Bano bakizudde nti omuntu buli lw’agejja n’amasavu geeyongera era gyebigweera nga sukaali amukubye akalippo.
Sukaali ono ava ku mugejjo takoma ku kino era ng’avaamu n’omuntu okufa amaaso kubanga akosa n’emisuwa