Ebyobulamu
Okusoma obubi kiva ku bwongo
Kizuuliddwa nti omwana okumukolako scaani ku bwongo kiyinza okuyamba okutegeera oba alina owbongo obulwaawo okukwata
Ekiinja kya bannasayanzi okuva mu America beebazudde bino
Abaana bangi baba n’obuzibu mu kutegeera ebintu mu kibiina naye nga kiva ku bwongo
Ssinga abaana bano embeera eno ebalabwaamu nga bukyaali esobola okuwonyezebwa yadde nga tewabaddewo nkola eyinza kuyamba kumanya kino
Abasawo bagamba nti ekya scaani kigendakuyamba abaana bangi ababadde n’obuzibu mu kutegeera naddala mu bibiina