Ebyobulamu
Okusomesa ku Condom kwetagisa
Bya Ivan Ssenabulya
Abakugu mu byobulamu balaze obwetaavu bwokwongera okusomesa abantu ku nkozesa, yobupiira bu kalimpita wa entuufu, okulwanyisa ebirwadde byobukaba.
Omulanga gukubiddwa nga Uganda yegasse ku nsi okukuza, olunnaku lwa International Condom Day, olukuzibwa buli 13th mu kwetegekera okukuza olunaku lwabagalana.
Dr Vincent Karuhanga, omusawo okuva ku Friends Polly Clinic agamba nti abantu bangi tebamanyi, ngeri ntuufu eyokukozesaamu opbipiira, era bamaliriza balwadde waddenga, babulina.
Wabula era asabye abantu okufangayo okukozesa obupiira obutakoowa, okusobola okwekuuma
Olunnaku lunolwatandika okukuzibwa mu mwaka gwa 2009.