Ebyobulamu
Okusomesa ku musujja gw’ensiri
Minisitule ekola ku by’ensimbi yakuvaayo n’enteekateeka namutaayiika ey’okulwanyisa omusujja gw’ensiri.
Kino kizze nga Uganda ekyalwana okwejja mu kibinja ky’amawanga agakyatawanyizibwa obulwadde buno naddala bwegutuuka ku baana
Ng’ayogerako eri bannamawulire, minister akola ku byensimbi, Maria Kiwanuka agambye nti omwaka guno ,bakukwatagana ne ministry y’ebyobulamu okutongoza enteekateeka eno okwetoloola eggwanga lyonna
Ono era agamba nti bagenda kukolagana era n’ebibiina by’obwannakyeewa okulaba nti buli kimu kiba kirungi.