Ebyobulamu

Okusomesa ku Typhoid kugenda mu maaso

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Typhoid

Abakulembeze b’abagoba ba Taxi mu ggwanga beegasse ku KCCA ne minisitule y’ebyobulamu okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid

Kino kizze wakati mu bigambibwa nti bangi ku bafuna obulwadde buno bagenda mu basawo b’ekinnansi okufuna obujjanjabi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro

Akulira ba dereeva ne ba kondakita Mustapha Mayambala agamba nti kino kigendereddwaamu kutaasa bulamu bwa ba dereeva ababadde batandise n’okusigala ewaka nga balowooza nti obulwadde buno tebuwona