Ebyobulamu
Okusonda ez’ekikulukuto- Airtel ewaddeyo
Nga Buganda ekyagenda mu maaso n’okusonda ensimbi ez’okulwanyisa ekikulukuto mu bakyala, olwaleero aba kkampuni ya Airtel awaddeyo obukadde 100 okuyambako.
Minisita wa Buganda akola ku nsonga z’abavubuk an’emizannyo, Herny Sekabembe Kiberu agambye nti ensimbi zino zigenda kuyambako okutuuka mu bakyala abalumizibwa nga n’abasinga baboolebwa
Ono agamba nti keekadde buli omu aveeyo ku bannakazadde b’eggwanga abayita mu bulumi nga n’abasinga bagamba nti liba ddogo
Buganda yassaawo emisinde egigenda okubaawo nga mukaaga omwezi ogujja okusonderako ensimbi ez’okulabirira abakyala abafuna ekikulukuto nga bamaze okuzaala.
Abaddusi abali m mitwalo esatu beebasuubirwa okwetaba mu misinde gino ng’okugyetabamu osasula omutwaalo gumu