Ebyobulamu
Okutambulira ku nyonyi tekujjaamu mbuto
Ettendekero ly’abakugu mu nsonga z’abakyala mu ggwanga lya Bungereza litegeezezza nti omukyala w’olubuto olukulu okulinnya enyonyi ssikyabulabe nga bangi bwebabadde babitebya
Bano batunuulidde abalina embuto ezisukka mu wiiki 28
Kkampuni z’enyonyi nyingi zirina amateeka eri abakyala b’embuto nga tezikkiriza abamu kusabaaliraku nyonyi zaayo
Bannasayansi bano bagamba nti yadde buli Muntu asabaalira mu nyonyi akosebwa amasanyalaze olw’entambula y’enyonyi, tewali bukakafu nti kino kijjamua bakyala embuto.
Bano bagamba nti olubuto olutalina bizibu terusobola kuvaamu nga bangi bwebijweteeka