Ebyobulamu
Okuwandiisa abafa n’abazaalibwa
Ekitongole ekikola ku kuwandiisa abantu abazaalibwa n’abafa kisabye gavumenti kuvaayo n’enkola enayamba okulaba nti abantu bonna bawandiisibwa
Ekitongole kino kigamba nti yadde tteeka nti abantu bonna abazaalibwa n’abafa bawandiisibwa, tekikoleddwa bulungi kubanga tewali nkola nnungamu ekirambika.
Okusinziira ku alipoota eyakolebwa mu mwak agwa 2011,ku baana abato abali wansi w’emyaka 5, ebitundu 30 ku buli kikumi bokka beebawandiise
Bino bizze nga Uganda eteekateeka okukyaaza amawanga amalala 16 okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nkola nkola y’okuwandiisa abantu ekozesa enkola ya buli wendi nkufuna
Enkola eno yatandikibwa mu mwaliro ga Uganda 135 agabunye mu districts 30.
Mu mawanga agagenda okwetaba mu Lukiiko luno kuliko Tanzania, Nigeria, Angola, Senegal, and Cameroon n’amalala