Ebyobulamu
Okuwona okufuluuta yimba obuyimba
Obadde okimanyi nti okufuluuta kusobola okukendeera ssinga omuntua beera ng’ayimba yimba
Abasawo bagamba nti okufuluuta kuva mu misuwa gy’emimiro okubeera emigumu nga buli Muntu lw’ayimba gigonda n’atafuna muzibu mu kufulumya mukka mu kussa
Bino byazuuliddwa oluvanyuma lw’abafuluusi okukunganyizibwa nebabakolako nga basiiba bayimba era bazze batereera mpola
Eyakulembeddemu okuyimbisa abantu bano agambye nti kyamusanyudde okulaba ng’abantu bano tebakyafuluuta ate abamu nga bafuluuta kitono.