Ebyobulamu
Okuwunya akamwa, manya bino
Wali oyogeddeko n’omuntu ng’acuuma akamwa.
Buli muntu ndowooza teyadyagadde kufulumya mukka mubi naddala nga guyita mu kamwa oba mu nyindo
Ekirungi nti embeera eno ssiyalubeerera era esobola okuwona.
Omukka guno nno guva mu kamwa , mu kibuno, mu mannya ne ku lulimi
Dr. Jeffrey Spiegel okuva mu America , agamba nti omukka guno guyinza okwewalibwa ssinga omuntu asenya amannyo n’okwoza akamwa
Omusawo ono agamba nti era abantu abamu bwebasenya tebayisa ku lulimi nga nakyo kikyaamu.
Abasawo era bagamba nti abantu balina okwewala okulya ebintu ebivaamu olusu omuli katungulu cumu n’obutungulu kubanga buno buleeta nnyo ekisu okuva mu kamwa.
Wabula abasawo bagamba nti omuntu ssinga alemerako ekisu ky’omu kamwa asaanye okugenda ew’omusawo bamwekebejje kubanga emirundi egisinga kiba kiva ku ndwadde endala