Ebyobulamu
Okuwutta obwongo
Abanonyereza basemberedde okuzuula ekkubo ely’okuyitamu okumanya omuntu ng’agenda okuwutta.
Abasawo mu kadde kano tebalina ngeri gyebayinza kumanyaamu ng’omuntu asemberera okuwutta era ng’abasinga bakola scan naye ng’obuzibu nti kizibu okumanya ng’ekirwadde kino kikyaali.
Mu nkola empya, abasawo bakwekebejjanga omusaayi gw’omuntu okulaba oba mulamu oba mulwadde.
Okunonyereza okwakoleddwa ku bantu 202 kulaga nti enkola y’okukozesa omusaayi ekola ebitundu 93 ku kikumi era ng’esobola okwesigamibwaako
Abantu bangi bwebakula bawutta obwongo era nga kizibu okubajjanjaba nebawona.
Ssinga enkola empya etandika okukola, abasawo bajjanga kusobola okukebera abantu abatandise okukaddiwa babajjanjabe nga bukyaali.