Ebyobulamu
Okuyamba Nankabirwa- ensimbi ziweze
Abantu abatali bamu bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku serena mu kawefube w’okusonda ensimbi z’okujjanjaba munnamawulire Rosemary Nankabirwa
Nankabirwa alina kokoolo era ng’embeera ye teyeyagaza ku ddwaliro lya kokoolo gy’ali
Mu kawefube ono, abakozi ba NTV begattiddwaako bannamawulire abalala n’abantu ba bulijjo okwooza emmotoka nga gwebooleza awaayo emitwalo 5
Nankabirwa yeetaga obukadde 100 okumutwala mu ddwaliro lya Nairobi okusobola okujjanjabwa.