Ebyobulamu
Okuyimba kwojiwaza obwongo bw’abaana
Okuyimba oba okukuba ebyuuma by’okuyimba kiyamba abaana okwongera okusoma .
Abanonyereza okuva mu Amerika bagamba nti okuyimba kuyamba nnyo abaana abali wakati w’emyaka 9 ne 10 okwongera okuyiga n’okuwawula obwongo
Bino byagezeseddwa ku bibinja by’abaana bibiri ng’emu kyabadde kisoma bwekiyimbamu ate ekirala nga kisoma busomi
Gyebyagweredde, ng’abayimbamu basoma bulungi nnyo era nga bagezigezi
Kati gwe Akaka omwana okusoma nga tazannyeemu, oba okuyimbamu, wandibadde oddamu okwerowooza oba ky’okola kyekituufu