Ebyobulamu
Okuzaala omwana omu kuleese ebizibu mu China
Mu ggwanga lya China, enkola yaabwe ey’okuzaala omwana omu buli maka etandise okubatabukira.
China yatandika enkola eno mu mwaka gwa 1979 nga teri muntu akkirizibwa ku zaala baana basukka mu omu.
Ekintu kino kyaleetebwa okukendeeza mu muwendo gw’aba china ogwaali gususse obungi kyokka nga kati bikyuuse.
Ng’emyaka gizze gyekulungulula ,abaana abazaalwa batandise okweyombekera olw’obutaba na banyina bwe oba Baganda baabwe era n’abazadde benyini beetamiddwa okubeera n;omwana omu.
Ku nguudo z’omu china kyangu nnyo okusanga ebipande ebivumirira eky’okukugira abantu okuzaala kyokka nga n’embizzi mu ggwanga lino zizaala nga bwezagaala
Mu bifananyi ebikubibwa , namwo kizibu okusanga abaana ababiri mu maka era bangi kibakaabya amaziga naddala abaakula nga bangi
Okusaba nti enkola egibweewo kuzze kuwulirwa era nga gavumenti ya china juuzi yategeeza nga bweyali akitunuddemu ng’eyinza okulagayaamu ku nkola eno