Ebyobulamu
Okuzannyamu kirungi
Abaana abato betaaga okubeera nga babuukabuuka okukuuma emitima gyaabwe nga gikuba bulungi
Abasawo bulijjo bagamba nti abaana abali wansi w’emyaka 10 balina okuzannya mu wakiri essaawa emu buli lunaku naye kati ate kizuuliddwa nti tekimala.
Abakugu kati bagamba nti omwana ali wansi w’emyaka 10 alina okubuukabuukamu okumala esaawa kumpi bbiri ate nga ku zino eddakiika abiri alina okutuuyana n’atonyolokoka.
Omwana buli bw’azannya aseka n’;amyumirwa era kino kyongera okugumya omutima gwe nga kizibu okulwaala obulwadde bw’omutima.