Ebyobulamu
Okwebaka kikulu
Ekimu ku bisinga okuyamba abaana okukwata byebasoma kwekwebaka.
Okunonyereza okukoleddwa ku baana 216 kulaze nti abaana abeebaka bakwata mangu ate tebeerabirarabira
Abakoze okunonyereza kuno bavudde mu America ng’era bawadde abazadde amagezi okufissaawo akadde basomere abaana baabwe emboozi nga bagenda okwebaka.
Bano bagambye nti okwebaka kikulu nnyo eri abaana abato ate okusinga abakulu.