Ebyobulamu
Okwekebeza hepatitis B kukyagenda mu maaso e Mengo
Bya Shamim Nateebwa
Minisita wa Buganda avunanyizibwa ku byobulamu nebyenjigiriza Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, akubirizza abantu b’omtanda okujumbira okwegemesa ekirwadde kyekibumba ekya Hepatitis B.
Mu kiseera kino olusiisira lwebyobulamu lugenda mu maaso e Mengo nga lwategekedwa ekitongole kyobwakabaka ekya kabaka foundation .
Owek Nankindu agambye nti kyamugaso nnyo abantu okwekebeza obulwadde n’okubwegemesa.
Kati abamu ku betabye mu kufuna obujanjabi buno, basimye omuteregga olwokusiima nabalowozaako era nabawa obujanjabi.