Ebyobulamu
Okwekozza lutalo
Mulimu abakyaala abaamira pini okukola figa nebwekiba kyetaagis ki.
Waliwo omukyaala azze yeelumya enjala okumala emyaaka 20 nga ayagala okusala ku myaaka nokukola figa nga enjogera yaleero.
Wabula tafunyemu, yenna asigadde ngumbangumba era bwomutunuulira alinga akakadde akemyaaka 70
Helen Gillespie, 30, yatandika okwerumya enjala nga alina emyaaka 10 gyokka era kyamuviirako obutamera mabeere nobutafuna nviiri mu bifo byekyaama paka nga awezezza emyaaka 26.
Abasawo baamutegezezza dda nga amagumbage bwe ganafuwa era kyeyali agoba ekyobutakadiwa baabuwe ate wakuzeeyuka mangu .
Abasawo bagamba nti ono yakutuka ekiwato bweyagwa nga wano yalina emyaaka 14 gyokka.
Mukazi wattu agamba azzenga yeeraba nga omwana omuto wabula kati yenna alinga namukadde .
Wano waatrabulidde abawala abaagala okwetoniya nga beerumya enjala nti tebakigezza baleme kutuuka ku kyeyatuukako.