Ebyobulamu
Okwerabira kabonero
Okwerabirarabira kabonero akalaga nti omuntu yandisanyalala mu biseera by’omu maaso.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa mu ggwanga lya Netherlands.
Abanonyereza bano bagamba nti ate gujabagira ssinga omuntu alina obuzibu bw’okwerabira aba asoma mu ttendekero lya waggulu.
Abasoma bano balina emikisa egiweza ebitundu 39 ku kikumi okusanyalala ate okusinga ku banaabwe abatasoma.
Okutuuka ku bino abanonyereza bakenenyezza abantu okumala emyaka 20.