Ebyobulamu
Okwerabira kuva ku ndya mbi
Abakugu mu byobulamu bakizudde nti omuntu obutaba na kirungo kizimba mubiri kimuviirako obutakwaasa mangu bimusomesebwa mu kibiina n’okwerabirarabira.
Bakagezi munyo bano okunonyereza kuno bakutadde mu kitabo ekimanyiddwa nga writing in Nature Medicine, nga bagamba nti baatunulidde bantu abawera abeerabirarabira nebakizuula nti abasinga tebayina kiriisa kizimba mubiri kimala.
Bakubirizza abantu okulya emmere ng’ebijanjaalo n’ennyama ensaamusaamu okusobola okuzimba emibiri gyaabwe.