Ebyobulamu
Okwetta kususse mu nsi yonna
Mu buli sekonda 40, wabaawo omuntu eyetta
Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna
Mu kadde kano ekibiina kino kigamba nti buno bwebuzibu obusinga mu byobulamu
Ekibiina kino kiraze okwenyamira wabula nti amawanga matono agalina enkola ku ngeri y’okulwanyisaamu omuze gw’okwetta.
Okunonyereza okuzudde bino kumaze emyaka 10 era nga kuyise mu mawanga agatali gamu
Buli mwaka kyeyolese nti abantu emitwaalo 80 beebetta nga era nga okwetta kikwata kyakubiri ku bintu ebitta abantu naddala abali wakati w’emyaka 15 ne 29.
Kyeyolese nti era abantu abasinga okwetta beebali mu mawanga g’abaavu