Ebyobulamu

Okwoota omusana ssi kirungi

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

sun 3

Omuntu okumala ebbanga ng’ayota omusana kisobola omufuuka omuze ate nga kyabulabe.

Omusana ono gukaza olususu ekiyinza okuvaamu endwadde endala omuli n’okukaza omubiri.

Okunonyereza kuno kukoleddwa ku mmese nga kati ekirindiriddwa kugezesebwa ku bantu.

Wabula ate bannasayansi abalala bagamba nti okugamba nti okwoota omusana guyinza okufuuka omuze kuba kwongera ssupu mu bintu.

Kyokka ate era waliwo buljjo abagamba nti ssinga omuntu yeemanyiiza omusana kiyinza okumulemeramu kyokka nga tekiriiko bukakafu.