Ebyobulamu
Olukungaana ku byobulamu
Abakulembeze b’ebyobulamu okwetoolola amawanga ga East Africa bakusisinkana mu Kampala okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ebyobulamu
Bagenda essira kulissa ku bulwadde bwa mukenenya n’omusujja gw’ensiri
Bano era bakuteesa ku nsonga za yinsuwa y’ebyobulamu, n’engeri y’okugissa mu nkola mu mawanga nga Uganda
Minisita omubeezi akola ku guno na guli mu minisitule y’ebyobulamu Chris Baryomunsi agamba nti bakukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okuddamu okufuna abagabirizi b’obuyambi okusakirira ebyobulamu
Olukiiko luno lwakumala ennaku ssatu okuva nga 25 okutuuka nga 27