Ebyobulamu

Olusiisira lujjumbiddwa

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Male circumcision 2

Olusisira lw’ebyobulamu olugenda mu maaso mu ssaza laya Ssabasajja lujubiddwa.

Olusiisira luno luyindira ku mbuga lye ssaza wakati mu kwetegekera olunaku lwa Bulungi bwansi olugenda okukuzibwa nga 8 omwezi guno.

Minisita w’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda Dr. Ben Mukwaya agambye nti endwadde omuli omusujja, endwadde eziva ku bisolo wamu n’okulya obubi zeezisinga okujanjabibwa.

Dr Mukwaya agambye nti  abasawo era bajanjaba obulwadde bwa sirimu wamu n’okukomola abasajja.