Ebyobulamu
Olutalo ku bujama
Mu disitulikiti ye Ibanda, ab’obuyinza batongozezza olutalo ku bujama.
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti ye Ibanda,Michael Origye agambye nti ekigendererwa kyakulaba nti abantu bakwatira wamu okulwanyisa obujama
Origye agamba nti abasawo bamaze okulambula ebitundu ebitali bimu omuli Bufunda, Kyaruhanga, Kigarama, Rugazi ne Kagongo Wards nga basomesa abantu ku ngeri y’okukuumamu ebifo byaabwe nga biyonjo
Abawadde n’amagezi okufuba okulaba nga bakungaanya kasasiro kubanga ono naye avaako endwadde