Ebyobulamu
Omuceere tegugejja kasita ogufumba bulungi
Bannasayansi bazudde engeri omuceere gyeguyinza okutegekebwaamu omuntu n’agulya ate negutamugezza
Bano bagamba nti omuceere guno bwegufumbibwa nga gulimu butto w’ebinazi omuntu n’agussa mu firiigi okumala essaawa mukaaga nga tannagulya guba guwedde ebiriisa ebigezza
Abanonyereza bano okuva mu Srilanka bagamba nti omuceere omutegeke bweguti gukendeeza obulabe bw’ebiriisa ebigulimu n’ebitundu 60 ku kikumi
Enkola eno ekendeeza ku sitaaki ali mu muceere olwo omuntu nebw’agulya aba tagejja