Ebyobulamu
Omujjuzo ku bulwaaliro bwa KCCA gususse
Omuwendo gw’abalwadde abaddukira mu bulwaliro bwa KCCA okufuna obujjanjabi guyitiridde obungi
Ekyewunyisa nti bangi ku bano tebava na mu kampala.
Akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi agamba nti kino kikosezza emirimu gyaabwe naddala bwegutuuka ku ddagala kubanga liggwaawo mu kiseera kyebaba tebetegekera
Musisi wabula agamba nti abasawo babagaana okugoba abalwadde nga bonna bafuba okulaba nti babakolako.
Asabye gavumenti okulongoosa ebyobulamu mu disitulikiti endala olwo osanga ebintu lwebinakyukako omujjuzo negukendeera