Ebyobulamu
Omuliro gusanyizaawo eddagala e Iganga
Bya Abubaker Kirunda
Omuliro gukutte etterekero lye ddagala mu district ye Iganga negusanyawo eddagala lya bukadde na bukadde bwansmbi.
Omuliro guno gukutte store esangibwa ku Saza Road, mu munisipaali ye Iganda, nga tekina yadde okutegerekeka guvudde ku ki.
Omuddumizi wa poliisi mu district eno Willis Ndaulane poliisi yabazinya mwoto, bagezezaako okuguzikiza naye negubalamerera.
Ndaula agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.