Ebyobulamu
Omulwadde afiiridde ku ddwaliro
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kasese oluvanyuma lw’omulwadde ow’emyaka 60 okutondoka n’afiira ku lubalaza lw’eddwaliro oluvanyuma lw’okusanga nga liggale emisana ttuku.
Ab’enganda z’omugenzi bazze bamusitulidde ku katanda k’abalwadde okuva mu kyaalo kye Buhathiro mu nsozi ze Ihandiro wabula nebasanga nga eddwaliro ligaddwa ku ssaawa 9 ez’emisana.
Ssentebe w’ekyaalo Edward Byalirwe ategezezza nga omugenzi bw’ategerekese nga Kahihili omutuuze ku kyalo Buhatiro .
Ssentebe wa disitulikiti ye Kasese munnamagye eyawummula Lt. Col. Dula Mawa Muhindo atuuse mu kifo kino okulaba ogubadde n’ategeeza nga gavumenti bwekola ekisoboka okutumbula eby’obulamu mu ggwanga wabula abasawo nebabayiwayo nga bebulankanya ku mirimu.
Ye akulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Kasese Dr. Yosuf Baseke agamba tebagaba bitanda ku ku ddwaliro lya Kihoko Health centre II nga era omugenzi yandiweereddwa obujanjabi obusookerwako singa abasawo babaddewo.