Ebyobulamu

Omuntu awuliriza ebintu bitaano

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

tasting

Abakugu bakizudde nti omuntu asobola okuwuliriza ebintu ebikaawa, ebirimu omunnyo, ebibalaala n’ebiwooma omulundi gumu

Buno babituseeko oluvanyuma lw’emyaka nga banonyereza era nga bigenda kuyamba okumalawo okukaayana ng’abamu bagamba nti obwongo tebusobola kuwuliza bintu bino

Basanguddewo n’ebigambibwa nti entikko y’olulimi yeeyokka ewuliza ebiwooma.

Abakugu okuva mu yunivasite ye Colombia bagamba nti buli kirina empooma kirina omusuwa gwaakyo mu bwongo kale ng’omuntu asobola okuwuliza ebikaawa n’ebiwooma nga bya njawulo.

Bannasayansi bano kati bagamba nti ebizuuliddwa bijja kubayamba okutegeera engeri y’okuyambamu abakadde abatandise obutawuliza