Ebyobulamu

Omusujja gukendedde mu bannayuganda

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Malaria

Omuwendo gwabannayuganda abakwatibwa omusujja gw’ensiri gukenderedde cddala.

Okusinziira ku kunonyereza okwakoleddwa wakati w’omwaka oguwedde ne guno abakwatibwa omusujja gw’ensiri wano mu Uganda bakendedde okuva ku bitundu 42% mu 2009 okudda ku bitundu 9 byokka.

Okunonyereza kuno era kulaze nti yadde nga omusujja gw’ensiri gwegukyasinze okutta bannayuganda , abantu batono kati abagulwala.

Bw’abadde afulumya alipoota eno, omu ku bakugu mu kitongole ekyatekebwawo okulwanyisa Malaria ekya National Malaria Control Program  mu minisitule y’ebyobulamu nga ono ye  Dr. Denis Rubahika wabula ategezezza nga omusujja gw’ensiri bwegukyali waggulu byalo okusinga mu bibuga.

Ye akulira ekitongole kino  Dr.Myers Lugemwa ategezezza nga bwebongeddemu amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kino.