Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri gukyatta abantu
Omusujja gw’ensiri zeezimu ku ndwadde ezakasinga okutta bannayuganda
Alipoota ekoleddwa minisitule y’ebyobulamu ey’omwaka eraga nti abantu abasoba mu 5000 beebafa omusujja gw’ensiri mu mwaka gumu ate nga kitundu ku bannayuganda baakwatibwa ko omusujja gw’ensiri mu bbanga lino.
Omusujja guno guddirirwa obulwadde bwa Pneumonia, Anemia ,endwadde ezikwata abaana nga bakazaalibwa kko n’akafuba.
Minista akola ku by’obulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti omusujja guno guvudde ku bidiba ensiri mwezizaalira okweyongera olw’embeera y’obudde
Rugunda wabula agamba nti basuubira nti omusujja guno gujja kukendeera nga bongedde amaanyi mu kutuusa obutimba bw’ensiri ku bantu
Mu alipoota eno era kyeyolese nti endwadde eizkwata abakyala zetuzze nga tezikendeera ate tezeyongedde kyokka nga bbwo obukiiko bw’ekyaalo obukola ku b’yobulamu buweddemu amaanyi olw’ensonga nti ababutuulako tebasasulwa