Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri- obukadde bwa doola 200 zeezetaagisa
Minisitule y’ebyobulamu yeetaga obukadde bwa doola 600 okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu myaka etaano egijja.
Enteekateeka eno esuubirwa okussa mu nkola ezinalwanyisa omusujja gw’ensiri omuli okufuuyira
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr. Asuman Lukwago agambye nti bakafuna obukadde bwa doola 200 okutandikirawo.
Lukwagoa gamba nti bagaala kutandikirawo okufuuyira naddala mu bifo ebirimu ennyo ensiri.
Omusujja gw’ensiri gwegwakasinga okutta abantu mu Uganda.