Ebyobulamu
Omusujja ogumenya omubiri
Mu ggwanga lya Hondrus wabaluseewo omusujja gumenya abantu omubiri nga gwakatta abnatu 16
Abantu abasoba mu mutwalo ogumu mw’enkumi ebbiri beebalina omusujja guno nga bakyagenda mu maaso n’okujjanjajibwa
Omusujja guno era oluusi guvaako omuntu okuvaamu omusaayi okutuusa lw’afa.
Gavumenti etegeezezza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kulwanyisa omusujja guno ng’eyita mu kufuuyira ensiri ezireeta omusujja guno
Omusujja guno gwakoma okulumba eggwanga lino mu mwaka 2010 era abanti 83 beebalusuulamu akaba