Ebyobulamu
Omuwendo gw’abafiira mu sanya gweyongedde
Ekigendererwa ky’ekyaasa eky’okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kyandigaana okutuukirira
Abali mu byobulamu bagamba nti ng’ebulayo omwaka gumu gwokka nsalessale atuuke, abakyala abafa nga bazaala kati batuuse ne ku 17 okuva ku 16 ababadde bamanyiddwa
Omukugu mu by’empuliganya mu kibiina kya White Ribbon Alliance Faridah Luyiga agamba omuwendo gw’abakyala abafa bakyaali bangi nga wabaddewo okwesiba mu kukendeeza abakyala bano.
Asabye abakyala bongere amaanyi mu ku kufuna obujjanjabi nga bakafuna embuto kyokka n’ajjukiza ne gavumenti ku buvunaanyizibwa by’okwongera ku bazaalisa