Ebyobulamu

Omwalo gususse obujama

Omwalo gususse obujama

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

File Photo : Omukazi nga sala omugga

File Photo : Omukazi nga sala omugga

Abavubi n’abakulembeze ku mwalo gwe Diimo benyamivu olw’omwalo gwabwe okuggalwa olw’obukyafu.
Omwezi oguwedde abatwala eby’obuvubi mu disitulikiti ye Masaka baggala omwalo guno oluvanyuma lw’okukizuula nti obukyafu bwali bususse nga buyinza n’okuvaako endwadde.
Omwalo guno kuwangalirako abantu abasoba mu 600 wabula nga kaabuyonjo 3 zokka ekyennaku nga zonna zajula dda sso nga abavubi bakyeyambirayo.
Wabula abavubi bagamba bakoseddwa nyo bukyanga mwalo guno guggalwa nga nebanaabwe abamu baasalawo okugenda ku myalo emirala nga tebabisobole.
Abdu Nsubuga nga ye ssentebe w’egombolola ye Kyesiga agamba baalongosezzamu mu buyonjo kale nga bekikwatako basanye okuggulawo omwalo gwabwe baddemu okukola naye bafa.