Ebyobulamu

Owa sukaali azadde bulungi

Ali Mivule

May 1st, 2015

No comments

DiABETIC MUM

Omukyala amenye likoda bw’azadde omwana bulungi nga tasaliddwa ate ng’alina obulwadde bwa sukaali

Omukyala ono baali baamussaamu akawago k’ekimpatiira okumuyamba okukuumira sukaali we awatuufu.

Catriona ow’emyaka  41 azaalidde mu ddwaliro lya Norfolk era ng’akubyeewo ddenzi.

Omukyala ono alina ekika kya sukaali asooka ng’ono kibadde tekirabikangako omukyala amulina okuzaala nga tasaliddwa

Akuuma akamussibwaamu kazze kakozesebwa ne ku bakyala abalala kyokka nga bbo bazaalira ku biso