Ebyobulamu
Oxygen w’ali- Mulago
Eddwaliro lye Mulago liwakanyizza ebigambibwa nti tewaliiwo mukka gwa Oxygen
Kiddiridde ebyafulumizibwa nga biraga nti abalwadde mukaaga abaali ku Oxygen beebafa oluvanyuma lw’omukkaga guno okuggwaawo
Omwogezi w’edwaliro lino Enoch Kusaasira agamba eddwaliro lino lyelikola omukka guno kale nga tegusobola kuggwawo
Eddwaliro lino nno olwaleero lifunye ebitanda, emifaliso n’amasuuka era nga bano basuubira okutandika okuwa abalwadde amasuuka mu kawefube ‘okukuuma obuyonjo n’okukuuma abalwadde mu mbeera ennungi