Ebyobulamu
Poliyo asobola okutaayizibwa
Okukozesa eddagala ly’ebika ebibiri erigema poliiyo kisobola okuyamba okutangirira ddala ekirwadde kino okukwata omuntu
Okunonyereza okukoleddwa mu buyindi kulaga nti ssinga omwana aweebwa akadagala k’omu kamwa ate n’agattako empiso olwo agumira ddala nekitaba kyangu okufuna poliiyo
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kigamba nti ebizuuliddwa biwa essuubi era bya byafaayo
Obulwadde bwa poliiyo buvaako omuntu okugongobala oluusi ekivaako okufa