Ebyobulamu
Pulezidenti avumiridde abavugisa ekimama.
Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni atabukidde abagoba b’ebiduka abagufudde omuzze okuvuga endiima, okukakana nga bakoze obubenje.
Bino webigidde nga obubenje ku nguudo ez’enjawulo bweyongedde naddala olwa Gulu- Kampala nga eno bus yakagwa wano e kaluma okukakana nga esse abantu abasuka mu 20.
President agambye nti kiruma okulaba nga abagoba b’ebiduka bakozesa bubi enguudo enungi ezikoleddwa , okukakana nga bakoze obubenje obutatade.
Ono ategeezeza nga ekyokukola engguudo kyo bwakiwangudde, era nga kakano ebitundu 58% ku nguudo za uganda zitemagana.
Ensonga endala president kw’asimbye amanyo kwekukyusa obulamu bw’abantu, era nga wano anokodeyo ekyokutendeka abaana ab’obuwala mu mirimo egy’enjawulo.
Ono agembye nti mu banga lino atendese abaana abawala 4,525 mu mirimo egy’okutunga , era bangi kati bakola.