Ebyobulamu

Sekandi atongozezza emisinde gya kokoolo

Sekandi atongozezza emisinde gya kokoolo

Ali Mivule

July 21st, 2015

No comments

File Photo: Sekandi nga kuba mungalo

File Photo: Sekandi nga kuba mungalo

Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi atongozezza emisinde gy’okulwanyisa kokoolo egy’omwaka 2015 .

Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo okumalawo obuzibu bw’ebbula ly’omusaayi.

Ssentebe w’akakiiko akateekateeka emisinde gino Fred Masadde agambye nti emisinde gino gyakubeera ku kisaawe e Kololo nga 30 omwezi ogujja.

Eyakulemberamu omulimu gw’okusaba etterekero lino Emmanuel Katongole  agambye nti emirundi mingi abalwadde abeetaga omusaayi okuli aba kokoolo, ab’obubenje, n’abakyala abazadde beetaaga omusaayi naye nga teguliiwo kale nga kino kijja kuyamba.