Ebyobulamu
Sigala mubi ku bakyala abayonsa
Abakyala abafuuweeta sigareti nga ate bayonsa gano gammwe
Abakugu balabudde nti abakyala bano bali mu bulabe bw’okufa n’abaana baabwe
Abakugu bano babadde boogerako eri bannamawulire wano mu kampala nga beetegekera ssabiiti enamba ey’okubangula abakyala ku kuyonsa
Kino kizze nga Uganda eteekateeka okwegatta ku nsi yonna okukuza sabbiiti y’okuyonsa
Dr Julius Muron okuva e Butabika agamba nti abakyala bano mu bulabe bw’okuzaala abaana abalwalalwala ekibaviirako okufa ate nga nabo nenyini baggwaamu olwo nebakalakalana
Dr Muron agamba nti omukyala ali olubuto oba azadde tasaana kwesembereza sigala