Ebyobulamu
Sikaani ezzeemu okukola e Mulago
Ekyuuma kya sikaani e Mulago kyaddaaki kizzeemu okukola oluvanyuma lw’ebbanga nga tekikola
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti ekyuuma ekikadde kyekyaddabiriziddwa kyokka nga n’ekipya kyakussibwaamu akadde konna
Omu ku bakola ku kyuuma kino Dr Sam Ochola ategeezezza nga buli kimu bwekitambula obulungi nga kati abalwadde beetaga emitwalo 12 okufuna sikaani.
Ekyuuma kino kisinga kwetaagibwa abo abakubiddwa obutayimba n’ababa bafunye ebisago nga balina okutunulwa munda