Ebyobulamu
Siriimu anafuya omubiri
Abakugu mu bulwadde bwa mukenenya bakizudde nti eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya linafuya omuntu n’aba ng’akwatibwa mangu endwadde.
Omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ezibuna amangu, Dr. Damali Nakanjako agamba nti bekenenyezza abantu abatandika ku ddagala mu mwaka gwa 2008 wegwatuukidde mu mwaka gwa 2015 ng’emibiri gyaabwe ginafuye.
Dr.Nakanjako asabye abantu bulijjo okugenda amangu mu ddwaliro bakeberebwe nga bukyaali okusobola okussibwa ku ddagala nga tebannaba kunafuwa
Mu ngeri yeemu,
Omumyuka wa Katikkiro asooka, Amb. Emmanuel Ssendaula akubirizza abavubuka okwewala obulwadde bwa mukenenya kisobozesse okutuusa omulamwa gwa Kabaka ogwokuteeka Buganda kuntiiko.
Ambassador Ssendaula bino abyogeredde Mengo bwasisinkanye abaami nabazaana ba Ssabasajja okuva mu Gombolola ya Ssabaddu Kira mu nkola yo Luwala Lwaffe eyatongozebwa gyebuvuddeko eyokuwaayo okusobola okuddukanya emirimu gya Ssabasajja.
Banno baguzze certificate za bukadde musanvu.