Ebyobulamu

Ssente z’envunza ziriwa- Palamenti

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

jiggers in busoga

Akakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu kagaala gavumenti okussaawo ensimbi z’okulwanyisa envunza mu ggwanga

Minisitule ekola ku byobulamu egezaako kulaba nti eweebwa obuwumbi bubiri okulwanyisa obulwadde bw’envunza obwatandika ng’obw’olusaago.

Okusinziira ku minisita akola ku byobujjanjabi ebisokerwaako Sarah Opendi, ensimbi zino zakukozesebwa okugula eddagala erifuuyira envunza zino

Akulira akakiiko k’ebyobulamu Dr Kenneth Omona agamba nti ensimbi zino era zisaanye n’okuyambako mu kusomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisa envunza zino.

Omona agamba nti amaanyi gandibadde gassibwa ku Busoga ne Karamoja ng’eno abaayo bangi envunza zibalidde