Ebyobulamu
Sukaali mubi ku mutima
Abakugu bazudde nti omuntu nebw’abeera ne kasukaali akatono mu mubiri naye ng’atandise okulirira,kimussa mu bulabe bw’okulwalira ddala omutima
Kino kikwata ku bantu abali wakati w’emyaka 35 ne 55.
Kino kiva ku nsonga nti buli Muntu lw’agatta emyaka 10 ku bulamu bwe ayongera okunafuwa
Abasawo abatunuulidde abantu 1500, bagamba nti kyandibadde kirungi abantu nebegendereza byebalya okwewala okulya ebirimu ennyo sukaali.