Ebyobulamu

Enyimba zikkakkanya ebirowoozo

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

 

 

music

Kizuuliddwa nti abavubuka abalina kokoolo basobola okuweweerako ssinga bawuliriza mu nyimba zebaagala.

Abanonyereza okuva mu America batunuulidde abalwadde ba kokoolo abali wakati w’emyaka 11 ne 24 nga bano babadde bawuliriza enyimba okumala ssabiiti 3.

Bano bakizudde nti enyimba zino zibayamba okubazzaamu essuubi nebaddamu n’okwagala ab’emikwano n’enganda zaabwe

Abaana bano nno era bangi bayiga enyimba nga boogera ku bulamu bwebayitamu era bangi kino kibaweweeza