Ebyobulamu
Tebakima ddagala
Ab’ekitongole ekitereka eddagala beesambye eby’okubeera nti beebali emabega w’amalwaliro agataliimu ddagala.
Omwogezi w’ekitongole kino Dan Kimosho agamba nti kino kiva ku bakulira amalwaliro okusuulayo ogwannagamba ng’abasinga tebaweereza kusaba kwaabwe nga bukyaali
Kimosho agamba nti kikakata ku buli mukulu mu ddwaliro okussaamu okusaba ku ddagala lyeyetaaga mu budde olwo n’abeera ng’akolebwaako naye nga bangi tebakikola